Deuteronomy 22:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye oba omusajja asanze eyo mu nsiko omuwala ayogerezebwa, amala amukwata ne yeebaka naye, yekka oyo y'afanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omusajja bw’anaasanganga omuwala ayogerezebwa ku ttale n’amukwata ne yeebaka naye olw’empaka, kale nno omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo y’anattibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye omusajja bw'asanganga omuwala ayogerezebwa mu nnimiro, n'amukaka okwegatta naye; omusajja yekka y'anattibwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye omusajja bw'anaagwikirizanga mu nnimiro oba mu ttale omuwala eyamala okwanjula, n'amukwata ne yeebaka naye, olwo omusajja yekka eyeebase n'omuwala oyo, ye anattibwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omusajja bw'asanganga omuwala ayogerezebwa mu nnimiro, omusajja n'amuwaliriza, n'asula naye; omusajja eyasula naye yekka y'anaafanga: