Deuteronomy 22:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwala temumukolanga kantu, kubanga takoze kibi kimugwaniza kufa; kino kifaanana ng'omusajja bw'afubutukira muganda we n'amutta,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwala oyo temumukolangako kintu kyonna, kubanga anaabanga talina kibi kyonna ky’akoze ekinaamusaanyizanga okufa. Ensonga ezo zifaanana ng’ez’omuntu anaabanga alumbaganye muliraanwa we n’amutemula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuwala temumukolangako kabi konna, kubanga anaabanga talina kibi kimusaanyiza kuttibwa; kino kifaanana n'omuntu afubutukira munne n'amutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuubengako kabi ke mutuusa ku muwala, kubanga anaabanga talina kibi kimusaanyiza kufa. Kino kifaanana n'eky'omuntu afubutukira munne n'amutta,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye omuwala tolimukola kintu; ku muwala tekuli kibi ekinaamussa: kuba ng'omuntu bw'agolokokera ku munne n'amutta, n'ekigambo ekyo bwe kiri bwe kityo: