Deuteronomy 22:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'omuwala ayogerezebwa yamusanga bw'omu ku ttale, yaleekaanako, naye tewaali amuwonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwokubanga omuwala ono anaabanga ayogerezebwa okufumbirwa yasangibwa omusajja ku ttale etali bantu, anaayinzanga okuba nga yeekubira enduulu naye ne watabaawo amudduukirira okumuyamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuwala oyo ayogerezebwa, yasangibwa mu nnimiro, n'akuba enduulu, ne watabaawo amudduukirira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga omuwala oyo yali mu nnimiro oba mu ttale, omusajja gye yamusanga, omuwala n'akuba enduulu, ne watabaawo amudduukirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yamusanga mu nnimiro; omuwala ayogerezebwa n'akuba enduulu, ne watabaawo amulokola.