Deuteronomy 22:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omusajja wa kuliyiranga kitaawe w'omuwala sekeli za ffeeza amakumi ataano, Omuwala amuwasanga kubanga amutoowazizza; tamugobanga ennaku zonna ez'obulamu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo anaasasulanga kitaawe w’omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano. Omusajja anaawasanga omuwala oyo okuba mukazi we, kubanga anaabanga amaze okumusobyako. Era taamugobenga okumala ebbanga lyonna omusajja oyo nga mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale omusajja oyo, anaawanga kitaawe sekeri eza ffeeza ataano (50), olwo n'alyoka afuuka mukazi we, kubanga yeegatta naye, era tamugobanga ennaku zonna ez'obulamu bwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omusajja oyo anaawanga kitaawe w'omuwala ebitundu ataano ebya ffeeza, omuwala oyo n'aba mukazi we, kubanga yamutoowaza. Era takkirizibwenga kumugoba ennaku zonna ez'obulamu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale omusajja eyasula naye anaamuwanga kitaawe w'omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano, era anaabanga mukazi we, kubanga yamutoowaza; tayinza kumugoba ennaku ze zonna.