Deuteronomy 22:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'otyo bw'okolanga ne ku ndogoyi, ne ku kyambalo na ku buli kyonna ekya muganda wo ekibanga kimubuzeeko; leka butakifaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okolanga bw’otyo ng’osanze endogoyi ya munno, obanga olonze ekyambalo kya munno, oba ekintu kyonna ekirala munno ky’anaabanga abuliddwa kyokka ggwe n’okironda. Tolemanga kuyamba munno ng’ali mu buzibu, ate nga wandisobodde okumuyamba. Obusobozi bw’onoobanga nabwo okuyamba munno tobumukwekanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onookolanga bw'otyo ne ku ndogoyi ye, ne ku kyambalo kye, ne ku kintu ekirala kyonna ekinaabulanga n'okironda; si kirungi kukikweeka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bw'otyo bw'onookolanga ng'obadde osanze endogoyi, olugoye, na buli kintu kya munno ekinaabanga kimubuzeeko. Obutafaayo si kirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onookolanga n'endogoyi ye bw'otyo; era onookolanga n'ekyambalo kye bw'otyo; era onookolanga na buli kintu ekya muganda wo ekinaamubulanga naawe ng'okironze: okwekweka si kulungi.