Deuteronomy 22:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'osanganga endogoyi ya muganda wo oba ente ye ng'egudde mu kkubo, leka butagifaako; omuyambangako ne mugisitulawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onoolabanga endogoyi ya munno, oba ente ye, ng’egudde ku kkubo, togiyitangako buyisi, wabula omuyambanga okugiyimusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'olabanga endogoyi ya munno oba ente ye nga egudde ku kkubo, togiyitangako; oyambanga n'ogiyimusa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Toolabenga ndogoyi ya munno oba ente ye ng'egudde ku kkubo, n'ogiyitako. Oyambanga n'ogiyimusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tolabanga ndogoyi ya muganda wo newakubadde ente ye ng'egudde mu kkubo, ne weekweka okuva gye ziri: tolemanga kumubeera okuziyimusa nate.