Deuteronomy 22:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukazi tayambalanga ebyambalo by'omusajja, n'omusajja ebyambalo by'omukazi; buli akola ekyo Omukama Katonda wo amwenyinyala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi taayambalenga ngoye za kisajja, so n’omusajja taayambalenga ngoye za kikazi; kubanga abakola ebyo Mukama Katonda wammwe abakyayira ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omukazi tayambalanga kya kyambalo kyamusajja, so n'omusajja tayambalanga kyambalo kya mukazi; kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omukazi taayambalenga byambalo bya musajja, n'omusajja taayambalenga byambalo bya mukazi, kubanga Mukama Katonda wammwe akyawa abakola eby'engeri eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi tayambalanga kya musajja, so n'omusajja tayambalanga kyambalo kya mukazi: kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama Katonda wo.