Deuteronomy 22:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'osanganga ekisu ky'ennyonyi ku bbali w'ekkubo, oba ku ttaka, oba mu muti, ennyonyi enkulu ng'emaamidde ku bwana oba amagi, totwalanga enkulu n'obwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temutwalanga Nnyonyi Nzadde. Bwe munaalabanga ekisu ky’ennyonyi ku muti, oba ku mabbali g’ekkubo, nga kirimu amagi oba obwana obuto, nga ne nnyina waabwo abumaamidde, oba atudde ku magi, bwe munaatwalanga obwana obuto, nnyina waabwo temumutwalirangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'osanganga ekisu ky'ennyonyi ku muti oba mu kkubo; nga kirimu amagi, oba obwana, nga nnyina waabwo amaamidde ku magi oba atudde ku bwana, totwalanga nnyina waabwo awamu n'amagi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'osanganga ekisu ky'ennyonyi ku muti oba wansi nga kirimu amagi oba obwana, ekinyonyi nga kiri ku bwana oba ku magi, tootwalenga kinyonyi na bwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekisu ky'ennyonyi bwe kiba nga kikuli mu maaso mu kkubo, ku muti gwonna oba wansi, obwana nga weebuli oba magi, nnyina ng'atudde ku bwana oba ku magi, totwalanga nnyina wamu n'amagi: