Deuteronomy 22:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkulu gireke egende, obwana bwo oyinza okubwetwalira, olyoke obeere bulungi, owangaale ebbanga ggwanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obwana obuto munaayinzanga okubutwala, kyokka nnyina waabwo mumulekanga n’agenda, mulyoke mufunenga emirembe mu mutima awamu n’obuwangaazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyinza okutwala obwana, nnyina waabwo n'omuta; olyoke olabenga ebirungi, era owangaalenga ennaku nnyingi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onooyinzanga okwetwalira obwana naye n'ota nnyina waabwo, lw'olibeera obulungi era n'owangaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tolemanga kuta nnyina, naye oyinza okwetwalira obwana; olyoke olabenga ebirungi, era owangaalenga ennaku nnyingi.