Deuteronomy 22:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'ozimbanga ennyumba empya, akasolya ko okakugiranga n'ekisenge, oleme kussisa ku nnyumba yo musango gwa kuyiwa musaayi, nga wabaddewo awanuse okuva ku kasolya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe muneezimbiranga enju empya ey’akasolya akatereevu akatali keesulifu, mukolangako akasenge waggulu okwebungulula akasolya ako, kalyoke kaziyizenga omuntu okuva eyo waggulu n’agwa wansi, n’aleeteranga ennyumba eyo omusango olw’omusaayi ogunaabanga guyiise.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ozimbanga ennyumba ey'akasolya akaagaagavu, okatekangako omuziziko; omuntu yenna aleme okuvaako okugwa, n'obaako omusango ogw'obussi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'ozimbanga ennyumba ey'akasolya abantu kwe bayinza okubeera, akasolya ako okeetooloozanga olukomera, n'otoleetera nnyumba yo musango gwa kutta, singa wabaawo awanattukayo n'agwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ozimbanga ennyumba empya, onookolanga omuziziko ku ntikko, ng'omuntu yenna ayimye okwo n'agwa, olemenga okuleeta omusaayi ku nnyumba yo.