Deuteronomy 22:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ennimiro yo ey'emizabbibu togisigangamu nsigo bbiri za njawulo, sikulwa nga ne by'osizeemu n'ebibala by'emizabbibu byombi obifiirwa mu kitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wakati w’ennyiriri z’emizabbibu temusimbangamu mmere ya ngeri ndala, bwe munaakikolanga, ebibala by’emizabbibu n’eby’emmere gye munaabanga musimbyemu, byombi munaabifiirwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toosimbenga kirime kirala mu nnimiro yo ey'emizabbibu, olemenga kufiirwa bibala byonna: eby'ekirime kye wasimbamu, n'ebibala eby'emizabbibu, kubanga byonna bya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Toosimbenga kirime kirala mu nnimiro yo ey'emizabbibu, olemenga kufiirwa bibala byonna: eby'ekirime kye wasimbamu, n'ebibala eby'emizabbibu, olw'okuyitibwa ebitali birongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tosiganga ngeri bbiri za nsigo mu lusuku lwo olw'emizabbibu: olemenga okufiirwa ebibala byonna, ensigo ze wasiga n'ekyengera eky'olusuku.