Deuteronomy 23:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omusajja tawasanga muka kitaawe; tanyoomoolanga obuliri bwa kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu yenna ng’ebitundu by’omubiri gwe eby’ekyama byabetentebwa oba nga byasalibwako, taayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyalaayibwa, oba eyasalibwako ebitundu by'omubiri gwe eby'ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Eyalaayibwa oba eyasalwako ekitundu ky'omubiri gwe eky'ekyama, taabeerenga mu nkuŋŋaana za bantu ba Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyafumitibwa, oba eyasalibwako ebitundu by'omubiri gwe eby'ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.