Deuteronomy 23:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'osiisiranga okulumba abalabe bo, weewalanga buli kintu kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wanaabangawo omusajja mu mmwe eyeeroteredde ekiro, bw’atyo n’aba atali mulongoofu, anaafulumanga mu lusiisira n’abeera ebweru.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe wanaabangawo mu mmwe omusajja afuuse atali mulongoofu olw'okwerooterera ekiro, anaafulumanga olusiisira, n'abeera ebweru waalwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wanaabangawo mu mmwe omuntu afuuse atali mulongoofu olw'okwerooterera ekiro, anaafulumanga olusiisira, n'abeera ebweru waalwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe wabanga mu mmwe omusajja yenna, atali mulongoofu olw'ekyo ekinaamubangako ekiro, anaafulumanga mu lusiisira, tayingiranga munda w'olusiisira: