Deuteronomy 23:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa omu ku basajja bo abeera si mulongoofu olw'okwerooterera, afulumanga ebweru w'olusiisira; tagendanga munda mu lusiisira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obudde bwe bunaawungeeranga anaanaabanga n’amazzi; enjuba bw’eneemalanga okugwa anaayinzanga okukomawo mu lusiisira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye obudde bwe bunaabanga buwungeera, anaanaabanga, n'akomawo mu lusiisira ng'enjuba egudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye obudde bwe bunaabanga buwungeera, anaanaabanga, n'akomawo mu lusiisira ng'enjuba egwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye olunaatuukanga, obudde bwe buwungeeranga, anaanaabanga n'amazzi: kale enjuba bw'emalanga okugwa, n'ayingiranga mu lusiisira.