Deuteronomy 23:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebweru w'olusiisira oteekangayo ekifo gy'onoogendanga ng'oyagala okweyamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoogendangayo n’eby’okukozesa. Onootwalanga ekifumu, bw’onoomalanga okweteewuluza onoosimanga ekinnya n’oziikamu ebyo ebivudde mu nda yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onoobanga n'ekifumu mu bintu byo; bw'onoofulumanga okweteewuluza onoosimanga ekinnya, oluvannyuma n'oziika mu ekyo ekinakuvangamu ng'omaze okweteewuluza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaabeeranga n'ekifumu mu bintu byammwe. Anaafulumanga okugenda okweteewuluza, anaasimanga ekinnya, oluvannyuma n'akiziika ng'amaze okweteewuluza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era onoobanga n'ekifumu mu bintu byo; awo olunaatuukanga, bw'onoofulumanga n'otuula, onookisimyanga n'okyuka n'obikka ku ekyo ekinaakuvangamu: