Deuteronomy 23:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obanga n'ekifumu eky'okweyambisa, ng'ogenze okufuluma, omalanga kusima kannya, bw'omala obubi bwo n'obuziikako ettaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda wo anaatambulanga naawe, mu lusiisira lwo ng’akulabirira n’okukuyamba okuwangula abalabe bammwe. Noolwekyo olusiisira lwo kirusaanira lubeerenga lutukuvu, Mukama alemenga kusangamu kintu kyonna ekitali kirongoofu mu ggwe ne kimuleeteranga okukuvaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munaakuumanga olusiisira lwammwe nga luyonjo, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabeeranga wamu nammwe mu lusiisira okubakuuma, n'okubasobozesa okuwangula abalabe bammwe. Mwewalenga buli ekitali kirongoofu, ekiyinza okumunyiiza, n'abakuba amabega.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaakuumanga olusiisira lwammwe nga luyonjo, kubanga Mukama Katonda wammwe anaabeeranga wamu nammwe mu lusiisira okubakuuma, n'okubasobozesa okuwangula abalabe bammwe. Mwewalenga buli ekitali kirongoofu, ekiyinza okumunyiiza, n'abakuba amabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Mukama Katonda wo atambulira wakati, mu lusiisira lwo, okukuwonya, n'okugabula abalabe bo mu maaso go; olusiisira lwo kye lunaavanga lubeera olutukuvu: alemenga okulaba mu ggwe ekintu kyonna ekitali kirongoofu, n’akukuba amabega.