Deuteronomy 23:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu bawala ba Yisirayeli temubangamu malaaya wa mu kiggwa, era ne mu balenzi temubangamu malaaya wa mu kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Toleetanga nsimbi, bamalaaya ze banaabanga bafunye mu bwamalaaya, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo okusasulira obweyamo, wadde ensimbi z’abasajja abalya ebisiyaga; kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala ebikolwa ebyo byombi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensimbi ezifuniddwa omukazi oba omusajja mu bwenzi obw'omu Yeekaalu, temuzireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe okutuukiriza obweyamo, kubanga Mukama Katonda akyayira ddala obwenzi obwengeri eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensimbi ezifuniddwa omukazi oba omusajja mu bwamalaaya obw'engeri ezo, temuuzireetenga mu nnyumba ya Mukama Katonda wammwe okutuukiriza obweyamo, kubanga Mukama Katonda wammwe akyayira ddala obwamalaaya obwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Toleetanga mpeera ya mwenzi, newakubadde empeera y'embwa, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo olw'obweyamo bwonna: kubanga ebyo byombiriri bya mizizo eri Mukama Katonda wo.