Deuteronomy 23:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Toleetanga mu nnyumba y'Omukama Katonda wo kirabo kya malaaya omukazi oba mpeera ya malaaya omusajja okusasulira oli kye yeetema; byombi Omukama Katonda wo abyenyinyala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuyisirayiri bw’anaawolanga Muyisirayiri munne ensimbi, oba emmere, oba ebintu ebirala byonna, bw’anaabanga asasulwa tasabirangako magoba gaabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuggyanga magoba ku baganda bammwe be muwola ensimbi, oba mmere, oba ekintu ekirala kyonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Baganda bammwe be muwola ensimbi oba emmere, oba ekintu ekirala kyonna, temuubaggyengako magoba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Towolanga muganda wo lwa magoba; amagoba ag'effeeza, amagoba ag'ebyokulya, amagoba ag'ekintu kyonna ekiwolwa olw'amagoba: