Deuteronomy 23:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Eyalaayibwa ng'enjagi zaatulisibwa oba nga zaasalibwako tajjanga mu lukuŋŋaana lw'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu bonna abanaazaalibwanga mu bufumbo obutaabenga butukuvu tebaayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda. Bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi, nabo tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusiza ddala ku mirembe ekkumi, tewabangawo ku bazzukulu be abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omwana azaalibwa ebweru w'obufumbo obutukuvu, wadde bazzukulu be okutuusa ne ku zzadde ery'ekkumi, tebaabeerenga mu nkuŋŋaana za bantu ba Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku babe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.