Deuteronomy 23:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'owolanga muganda wo tomusabanga magoba, ku ssente, ku mmere oba ku kintu ekirala kyonna ekireeta amagoba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onoowolanga bannaggwanga onoobasabirangako amagoba gaako; Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa ku buli ky’onookwatangako engalo ng’otuuse mu nsi gy’oli okumpi okuyingira n’okugyefunira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye si kibi okuwola bannamawanga ne mubaggyako amagoba; naye baganda bammwe temubawolanga ne mubaggyako amagoba; Mukama Katonda wammwe alyoke abawenga omukisa mu byonna bye munaakolanga, mu nsi gye mugenda okutuulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abagwira munaayinzanga okubawola ne mubaggyako amagoba, naye temuugaggyenga ku baganda bammwe be muwoze, Mukama Katonda wammwe lw'anaabawanga omukisa mu byonna bye munaakolanga mu nsi gye mugenda okwefuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
munnaggwanga si kibi okumuwola olw'amagoba; naye muganda wo tomuwolanga lwa magoba: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu byonna by'oteekako omukono gwo, mu nsi gy'oyingiramu okugirya.