Deuteronomy 23:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omugwira oyinza okumusaba amagoba, naye muganda wo tomusabanga magoba; Omukama Katonda lw'anaakuwa omukisa mu byonna emikono gyo bye gikola mu nsi gy'ogenda okuyingiramu ogitwale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’oneeyamanga obweyamo eri Mukama tolwangawo kubutuukiriza, kubanga ddala ddala Mukama Katonda wo agenda kukikulagira olyoke weewonye omusango olw’ekibi ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe muneeyamanga obweyamo eri Mukama Katonda wammwe, temulwangawo kubutuukiriza; kubanga Mukama Katonda wammwe talirema ku bubabuuza ne kifuuka ekibi gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe mubangako kye mweyamye okukolera Mukama Katonda wammwe, temuulindirizenga kukituukiriza, kubanga Mukama Katonda wammwe talirema kukibabuuza, ne kibaviiramu ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'oneeyamanga obweyamo Mukama Katonda wo, totenguwanga kubusasula: kubanga Mukama Katonda wo talirema kububuuza gy'oli: era kyandibadde kibi mu ggwe: