Deuteronomy 23:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekibanga kifulumye mu kamwa ko okikolanga, kubanga wayogera ng'oggye mu ggwe wekka n'osuubiza Omukama Katonda wo n'akamwa ko kennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emizabbibu, onooyinzanga okwenogeranga ku birimba by’emizabbibu n’olya nga bw’oneetaaganga n’okkuta, naye tossangako mu kibbo okwetwalirako eka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'oyingira mu lusuku lwa munno, olw'emizabbibu, si kibi okulya ezabbibu n'okkuta nga bw'oyagala; naye togitwalirangako mu kintu kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'otuukanga mu nnimiro ey'emizabbibu ey'omuntu omulala, onooyinzanga okulya ku mizabbibu nga bw'oyagala n'okkuta. Naye toobengako gy'otwalira mu kintu kyo na kimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'oyingiranga mu lusuku olw'emizabbibu olwa munno, si kibi okulya ezabbibu okukkuta nga bw'oyagala ggwe: naye toterekangako mu kintu kyo.