Deuteronomy 23:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ng'ogenze mu nnimiro ya munno ey'emizabbibu, lya emizabbibu nga bw'oyagala, kyokka totekangako mu kisero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emmere ey’empeke, onooyinzanga okwekungulirangako n’engalo zo, naye toddiranga kambe n’osala emmere y’empeke eyo eneebanga tennaba kusalibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'onoogendanga mu nnimiro ya munno ey'eŋŋaano etennakungulwa, si kibi okunoga ebirimba n'engalo zo n'olya; naye tosalanga n'ekiwabyo eŋŋaano ya munno etennakungulwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'otuukanga mu nnimiro y'eŋŋaano ey'omuntu omulala, onooyinzanga okunoga ku birimba n'olya, naye toosalenga na kiwabyo ŋŋaano ya muntu mulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'oyingiranga mu ŋŋaano etennakungulwa eya munno, si kibi okunoga ebirimba n'engalo zo; naye toteekanga kiwabyo kuŋŋaano etennakungulwa eya munno.