Deuteronomy 23:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Azaaliddwa mu nsonga, n'abaana be, n'okutuukira ddala ku bazzukulu ab'ezzadde ery'ekkumi tebayingiranga mu lukuŋŋaana lw'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abamoni n’Abamowaabu ne bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwamoni n'Omumowaabu tebayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusiza ku mirembe ekkumi, tewabangawo ku bazzukulu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omwammoni n'Omumowaabu ne bazzukulu baabwe okutuusa ne ku zzadde ery'ekkumi, tebaabeerenga mu nkuŋŋaana za bantu ba Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwamoni oba Omumowaabu tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku bantu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna: