Deuteronomy 23:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwammoni n'Omumowabu n'abaana baabwe, n'okutuukira ddala ku bazzukulu baabwe ab'ezzadde ery'ekkumi, tebayingiranga mu lukuŋŋaana lw'Omukama emirembe gyonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe mwali muva mu nsi y’e Misiri, tebajja kubaaniriza n’okubaleetera ku mmere ne ku mazzi; ate ne bapangisa Balamu mutabani wa Byoli nga bamuggya e Pesoli eky’omu Mesopotamiya, okubakolimira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga baagaana okubawa emmere n'amazzi bwe mwali muli mu lugendo nga muva e Misiri era kubanga bagulirira Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya okubakolimira, tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n'amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mu lugendo lwammwe nga muva e Misiri, baagaana okubawa emmere n'amazzi. Era baagulirira Balamu mutabani wa Bewori okuva e Petori ekibuga ky'e Mesopotaamiya, okubakolimira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n'amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya, okukukolimira.