Deuteronomy 23:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga tebajja kubasisinkana na migaati na mazzi lwe mwava mu Misiri, era kubanga baagula Balaamu, mutabani wa Bewori ow'e Petori mu Aramu Nakarayimu akuvumirire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Mukama Katonda wo n’alemesa Balamu; ekikolimo n’akikufuuliramu omukisa, kubanga Mukama Katonda wo akwagala nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama Katonda wammwe yabaagala, n'agaana okuwulira Balamu; naye n'afuula ekikolimo kye okuba omukisa gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama Katonda wammwe yagaana okuwuliriza ebya Balamu. Mu kifo ky'ekikolimo, n'abawaamu mukisa, kubanga yabaagala mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama Katonda wo yagaana okuwulira Balamu; naye Mukama Katonda wo n'afuula ekikolimo okuba omukisa gy'oli, kubanga Mukama Katonda wo yakwagala.