Deuteronomy 23:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka Omukama Katonda wo teyawuliriza Balaamu; okuvumirira kwe n'akufuula mukisa, kubanga Omukama Katonda wo yali akwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokolanga nabo endagaano ey’omukwano n’okubayamba mu mbeera yaabwe ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku zonna temukolereranga kuleetawo mirembe na bantu abo, wadde okubayamba okuba obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku zonna temuukolererenga kuleetawo mirembe na bantu abo, wadde okubayamba okuba obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tonoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe ennaku zo zonna emirembe gyonna.