Deuteronomy 23:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omwedomu tomwenyinyalanga, kubanga muganda wo. N'Omumisiri tomwenyinyalanga, kubanga wabeerayo ng'omugwira mu nsi ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana baabwe ab’omulembe ogwokusatu banaakkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bazzukulu baabwe bannakabirye banaakkirizibwanga okuyingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu baabwe bannakabirye banakkirizibwanga okubeera mu nkuŋŋaana z'abantu ba Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana bannakabirye abalibazaalirwa baliyingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.