Deuteronomy 24:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omusajja bw'awasanga omukazi, oluvannyuma n'asanga nga tamusanyusa, ng'amuzuddemu ekintu ekitajja, n'amuwandiikira ebbaluwa ey'obugobe, n'agimukwasa, n'amugoba mu maka ge,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omusajja bw'awasanga omukazi, n'ataganja mu maaso ge, kubanga alabye ekitali kirungi ku ye, bba anaamuwandiikiranga ebbaluwa, n'agimukwasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omusajja bw'awasanga omukazi, omukazi n'atasanyusa musajja oyo, kubanga omusajja azudde ekitali kirungi ku mukazi oyo, anaamuwandiikiranga ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimukwasa, n'amugoba mu maka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja bw'atwalanga omukazi n'amuwasa, kale olunaatuukanga, bw'ataaganjenga n'akatono mu maaso ge, kubanga alabye ku ye ekitali kirungi, anaamuwandiikiranga ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze; n'amugoba mu nnyumba ye: