Deuteronomy 24:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ogumuddizanga ng'enjuba egwa, yeebikke ekizibawo kye; alikusabira omukisa, n'ekikolwa kyo kiriba ng'obutuukirivu bwo mu maaso g'Omukama Katonda wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjuba bw’eneebanga yaakagwa, onookiddizanga munno oyo alyoke akyebikke ekiro nga yeebase. Bw’atyo anaakwebazanga era kinaabanga kikolwa kya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyambalo kye eky'omusingo okimuddizanga akawungeezi asobole okukisulamu, alyoke akusabire omukisa; era ne Mukama Katonda wo alyoke akusiime.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onookimuddizanga akawungeezi asobole okukisulamu, akusabire omukisa, era Mukama Katonda wo alyoke akusiime.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tolemanga kumuddiza musingo obudde bwe bunaawungeeranga, alyoke asule mu kyambalo kye, era akusabire omukisa: era kinaabanga butuukirivu eri ggwe mu maaso ga Mukama Katonda wo.