Deuteronomy 24:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tokumpanyanga mupakasi wo mwavu oba ali mu bwetaavu, abeere muganda wo oba omugwira asula mu bibuga byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Toyiikirizanga mwavu n’omupakasi ali mu kwetaaga, n’olwawo okumusasula empeera ye; ne bw’anaabanga Omuyisirayiri munno oba ow’okubannamawanga abanaabeeranga mu nsi yo nga basula mu kimu ku bibuga byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tolyazaamanyanga mpeera y'amukozi wo omwavu, mu nnaggwanga oba Omuisiraeri, abeera mu bibuga byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu akolera empeera nga mwavu era ng'ali mu bwetaavu, toomuyiikirizenga, k'abe Muyisirayeli munno, oba omugwira abeera mu kimu ku bibuga byammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tojooganga musenze akolera empeera omwavu eyeetaaga, bw'aba ku muwendo gwa baganda bo oba ku muwendo gwa bannaggwanga bo abali mu nsi yammwe munda w'enzigi zo: