Deuteronomy 24:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye buli lunaku ng'enjuba tennagwa omusasulanga empeera ye, kubanga munaku, omutima gwe gugirumirwa, sikulwa ng'akoowoola n'akuwaabira ew'Omukama n'oba n'omusango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ng’enjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu n’omutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bw’onoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira Mukama Katonda n’akuloopayo, bw’otyo onoogwanga mu musango ogw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onoomusasulanga empeera y'olunaku lw'akoze ng'enjuba tennagwa, kubanga empeera ye agyetaaga, era ab'alindiridde okugifuna; alemenga okukabirira Mukama ng'akuwawaabira n'obaako omusango.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lunaku lw'akoze, onoomuwanga empeera ye ng'enjuba tennagwa, kubanga empeera ye agyetaaga, era aba alindiridde okugifuna. Bw'otogimuwa, ajja kukaabirira Mukama ng'akuwawaabira, n'oba ng'okoze kibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku lunaku lwe onoomuwanga empeera ye, so n’enjuba tegwanga ng'ekyaliyo; kubanga mwavu era agiteckako omwoyo gwe: alemenga okukaabiriranga Mukama okukuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli.