Deuteronomy 24:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bakitaabwe b'abaana si ba kuttibwanga olw'abaana baabwe, n'abaana si ba kuttibwanga olwa bakitaabwe; buli omu anaafanga lwa kibi kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakitaabwe b’abaana tebattibwenga nga babalanganga abaana baabwe, n’abaana tebattibwenga nga babalanganga bakitaabwe; buli omu anattibwanga ng’alangibwanga ekibi kye ye yennyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Abazadde tebattibwenga lwa misango giziddwa baana baabwe, so n'abaana tebattibwenga lwa misango giziddwa bazadde baabwe. Naye omuntu anattibwanga lwa musango gw'azizza ye yennyini.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abazadde tebattibwenga lwa misango gizziddwa baana baabwe, n'abaana tebattibwenga lwa misango gizziddwa bazadde baabwe. Omuntu anattibwanga lwa musango gw'aba azzizza yennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakitaabwe tebattibwanga okubalanga abaana baabwe, so n'abaana tebattibwanga okubalanga bakitaabwe: buli muntu bamulangenga ekibi kye ye okumutta.