Deuteronomy 24:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'okesanga amakungulago mu nnimiro ne weerabirayo omuganda mu nnimiro, toguddukiranga; gulekere omugwira, mulekwa ne nnamwandu, Omukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu byonna emikono gyo bye gikola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onookungulanga ebibala mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa mu nnimiro, toddangayo kukikima. Onookirekeranga omunnaggwanga oba omwana omufuuzi oba nnamwandu; bw’atyo Mukama alyoke akuwenga omukisa mu byonna by’onookolanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'okungulanga ebikungulwa mu nnimiro yo ne weerabira ekinywa mu nnimiro, ne weerabirayo ekinywa, toddangayo kukikima; kinaabanga kya munnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu. Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu mirimu gyo gyonna gy'okola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'okungulanga ebirime byo mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa ky'eŋŋaano, toddengayo kukiggyayo. Ekyo okirekeranga bagwira, bamulekwa, ne bannamwandu, Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu byonna by'okola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'okungulanga ebikungulwa byo mu nnimiro yo ne weerabira ekinywa mu nnimiro, toddangayo nate okukikima; kinaabanga kya muanaggwanga, ky'atalina kitaawe, era kya nnamwandu: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu mulimu gwonna ogw'engalo zo.