Deuteronomy 24:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'ogendanga okukuba oliva zo, toziddangamu gwa kubiri; ezisigalira zibeere za mugwira, mulekwa ne nnamwandu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’onookubanga emizeeyituuni okuva ku miti gyo, toddangayo ku matabi mulundi gwakubiri okumalirako ddala ebibala ebinaabanga bisigaddeko. Ebyo binaabanga bya bannamawanga, n’abaana bamulekwa ne bannamwandu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'okubanga ebibala by'emizeyituni gwo, toddangayo lwakubiri kukuba ebisigaddeko. Ebyo, binaabanga bya mu nnaggwanga, mulekwa ne nnamwandu
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'onoganga ebibala by'omuzayiti, toddenga mu matabi okunoga ebisigaddemu. Obirekeranga bagwira, bamulekwa, ne bannamwandu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'okubanga omuzeyituuni gwo, toddanga mu matabi lwa kubiri: gunaabanga gwa munnaggwanga, gw'atalina kitaawe, era gwa nnamwandu.