Deuteronomy 24:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Jjukira nti naawe wali muddu mu Misiri; kyenva nno nkulagira okole ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri; kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jjukira nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, kye nva nkulagira okukolanga bw'otyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujjukire nga mwali baddu mu nsi y'e Misiri, kyenva mbawa ekiragiro ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri: kyenva nkulagira okukolanga ekigambo ekyo.