Deuteronomy 24:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'oyo naye n'amukyawa, n'amuwa ebbaluwa ey'obugobe, n'amugoba mu maka ge, oba ye yennyini omusajja n'afa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja ono owookubiri naye bw’anaamukyawanga n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, oba omusajja oyo owookubiri bw’anaafanga;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bba ow'okubiri naye bw'amukyawanga n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba n'agimukwasa, n'amugoba mu nnyumba ye; oba bba oyo bw'afanga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bba owookubiri bw'anaamukyawanga n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba mu maka ge, oba bba oyo owookubiri bw'anafanga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bba ow'okubiri bw'amukyawanga, n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze, n'amugoba mu nnyumba ye; oba bba ow'okubiri bw'afanga, eyamuwasa;