Deuteronomy 24:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oli eyasooka okumuwasa tayinza kuddamu kumufuula mukazi we, kubanga omukazi oyo yagwagwawazibwa. Ekyo Omukama akyenyinyala. Ensi yo Omukama Katonda wo gy'abanga akuwadde ng'obusika togireeteranga kugwa mu kibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bba eyasooka, eyali amugobye takkirizibwenga kuddamu kumuwasa kuba mukazi we, kubanga omukazi oyo anaabanga amaze okwebaka n’omusajja omulala. Ekyo kinaabanga kya kivve mu maaso ga Mukama. Totwalanga kibi mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obutaka bwo obw’enkalakkalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bba ow'olubereberye eyamugoba tamuddiranga, kuba yamala okumwonoona; ekyo kya muzizo mu maaso ga Mukama; temukolanga kibi bwe kityo, muleme okwonoona ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
olwo bba oli eyasooka okumugoba taddengamu kumuwasa. Omukazi oyo aba amaze okwonooneka. Okuddamu okumuwasa kiba kya muzizo mu maaso ga Mukama. Temuukolenga kibi kyenkanidde awo mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bba ow'olubereberye, eyamugoba, tamutwalanga nate okumuwasa, bwe yamala okwonoonebwa; kubanga ekyo kya muzizo mu maaso ga Mukama: so tokozanga nsi bibi, Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika.