Deuteronomy 24:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ng'omusingo olw'ebbanja oli ly'akulinako, tomuggyangako byombi, enso n'olubengo, ne bw'eba enso yokka, kubanga ebyo bwe bulamu bwe bwennyini bw'aba asinzeewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu bw’awolanga munne n’amusaba omusingo, oba akakalu, tamuggyangako lubengo oba enso ng’omusingo oba akakalu, kubanga mu musingo ng’ogwo, aba atwaliddemu obulamu bwa munne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna taasingirwenga lubengo oba enso, ebikozesebwa mu kusa emmere; kuba kifaanana nga okusingirwa obulamu bw'omuntu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tewaabenga asingirwa lubengo wadde enso ebisa emmere, kubanga kwandibadde ng'okusingirwa obulamu bwennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna tasingirwanga lubengo newakubadde enso: kubanga asingirwa obulamu bw'omuntu.