Deuteronomy 24:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Singa omuntu asangibwa ng'awamba omu ku baganda be mu Bayisirayeli, n'amuyisa ng'omuddu, n'amutunda, eyawamba bw'akwatibwanga, attibwanga buttibwa. Oteekwa okuggyirawo ddala ekibi kino mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu bw’anaakwatibwanga ng’awamba, obanga atunda Omuyisirayiri munne mu buddu, kale omuwambi anattibwanga. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi wakati mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omuisiraeri bw'anawambanga mu Isiraeri munne n'amufuula omudduwe oba n'amutunda okuba omuddu, omuwambi oyo anattibwanga. Bwe mutyo bwe munaggyangawo ekibi ekyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli abuzaawo Muyisirayeli munne n'amufuga obuddu, oba n'amutunda, anattibwanga. Bwe mutyo bwe muneggyangako ekibi ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe basanganga omuntu ng'abba omuntu yenna ku baganda be abaana ba Isiraeri, n'amukola ng'omuddu, oba n'amutunda; kale omubbi oyo anattibwanga: bw'otyo bw'onoggyanga obubi wakati mu ggwe.