Deuteronomy 24:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku bulwadde obw'ekigenge weegenderezanga era ofangayo nnyo n'okola nga bakabona Abaleevi bwe babanga bakugambye. Otuukirizanga n'obwegendereza bo bye nabalagira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe wanaagwangawo obulwadde obw’olususu ng’obw’ebigenge, weegenderezanga nnyo, n’ogonderanga ebyo Abaleevi, bakabona, bye banaabalagiranga okukola, nga bwe mbalagidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'olwalanga endwadde ey'ebigenge, wegenderezanga nnyo n'okolera ddala byonna bakabona Abaleevi bye banaakugambanga, nga bwe nnabalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe mukwatibwanga endwadde ey'ebigenge, mwegenderezenga okukwatira ddala n'okutuukiriza byonna bakabona Abaleevi bye babagamba. Nga bo bwe nabalagira, bwe mutyo bwe muneegenderezanga okutuukiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weekuumenga mu kibonobono eky'ebigenge, okwatirenga ddala okolenga byonna bakabona Abaleevi bye banaabayigirizanga: nga bwe nnabalagira bo, bwe mutyo bwe munaakwatanga okukola.