Deuteronomy 25:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu nsawo yo tobeerangamu na minzaani za buzito bwa njawulo, ennene n'entono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tossanga mu nsawo zo mayinja gapima ga ngeri bbiri ez’enjawulo, ng’erimu lizitowa, kyokka nga linnaalyo liwewuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tokozesanga bipima bibiri byanjawulo; ekituufu n'ekitali kituufu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Temuukumpanyenga, ne mukozesa ebipimo ebikyamu okupima obuzito,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tobanga na bya kupima ebitali bimu, ekinene n'ekitono, mu nsawo yo.