Deuteronomy 25:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obeeranga ne minzaani epima ekituufu, eyeesigika; obeeranga n'efa epima ekituufu, eyeesigika, olyoke owangaale ebbanga ggwanvu mu nsi Omukama Katonda wo gy'agenda okukuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kikugwanira obeerenga n’amayinja agapima obuzito obutuufu, era n’ebipima ebirala eby’amazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okozesanga ebipima n'ebigera ebituufu, olyoke owangalirenga mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, ennaku zo zibe nnyingi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukozesanga ebipimo ebituufu n'ebigero ebijjuvu, lwe muliwangaalira mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obenga n'eky'okupima ekituukirivu ekitasoba; obenga n'ekigero ekituukirivu ekitasoba: ennaku zo zibenga nnyingi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.