Deuteronomy 25:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama Katonda wo yeenyinyala yenna akola ebyo, buli yenna atali mwenkanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala abo bonna abakola ebyo ebitali bya bwesigwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama Katonda akyawa bonna abakumpanya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama Katonda wammwe akyawa buli akola ebibi ebiri ng'ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bonna abakola ebiri ng'ebyo, bonna abakola ebitali bya butuukirivu, muzizo eri Mukama Katonda wo.