Deuteronomy 25:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno Omukama Katonda wo bw'akuwanga n'oweerako ku balabe bonna abakwetoolodde mu nsi gy'agenda okukuwa ogitwale ng'obusika, osangulirangawo ddala erinnya lya Amaleki wansi w'eggulu. Teweerabiranga!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’akumazeeko n’abalabe bo bonna ku njuyi zonna, ng’owummudde, ozikiririzanga ddala Abamaleki n’obamalirawo ddala bonna wansi w’eggulu, ne watabaawo baliddayo kubajjukira nti baali babaddewo. Ekyo tokyerabiranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka, Mukama Katonda wammwe bw'alimala okubawa emirembe, nga muwangudde abalabe bammwe bonna ababeetoolodde, nga mutudde mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa okuba obutaka, temwerabiranga kusaanyizaawo ddala Abamaleki baleme kujjukirwa ku nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama Katonda wammwe bw'alimala okubatebenkeza mmwe, n'abaggyirawo abalabe bammwe bonna ababeetoolodde mu nsi gy'abawa okuba obutaka bwammwe, mulisaanyizaawo ddala Abameleki abo, baleme kujjukirwanga ku nsi. Temukyerabiranga ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka, Mukama Katonda wo bw'aliba ng'akuwadde okuwummula eri abalabe bo bonna enjuyi zonna, mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika okugirya; kyoliva osangula okujjukizibwa kwa Amaleki wansi w'eggulu: teweerabiranga.