Deuteronomy 25:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusobya bw'abanga asaanira kukubibwa, omulamuzi amugalamizanga wansi n'amukubira awo mu maaso ge; obungi bw'embooko bwa kugererwa ku bunene bw'omusango gwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa oyo gwe gunaasiŋŋanga anaabanga asaanira okukubwangamu obuga, omulamuzi anaamugalamizanga wansi n’akubirwa mu maaso ge omuwendo gw’obuga obuggya mu musango gw’anaabanga azzizza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusobya bw'anaaweebwanga ekibonerezo eky'okukubwa emiggo, omulamuzi anaalagiranga n'agalamira, n'akubirwa mu maaso ge emiggo egigya mu musango gw'azzizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusobya bw'anaabanga azzizza omusango ogunaamukubya, omulamuzi anaalagiranga ne bamugalamiza mu maaso ge, ne bamukuba emiggo egisaanira omusango gwe yazza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olunaatuukanga, omubi bw'abanga azzizza ogunaamukubya, omulamuzi anaamugalamizanga, anaamukubiranga mu maaso ge, ng'obubi bwe bwe buli, emiggo emibale.