Deuteronomy 25:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kyokka tomukubanga kusukka mbooko makumi ana. Bw'alikubwa okusinga ku ezo, muganda wo aliba anyoomeddwa mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye nga tebusukka buga amakumi ana. Bwe bunaasukkanga omuwendo ogwo munnammwe anaabanga aswazibbwa nnyo mu maaso gammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibonerezo tekissukenga miggo ana (40). Muganda wo oleme ku muweebuula nnyo mu bantu banne.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayinza okumusalira emiggo okutuuka ku makumi ana, kyokka taasussengawo. Okumukuba egisinga awo, kyandibadde kumuweebuula mu banne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayinza okumusalira emiggo ana, tasussangawo: muganda wo alemenga okufaanana atali wa muwendo gy'oli, bw'abanga asussizzaawo ng'amukubye emiggo mingi okusinga egyo.