Deuteronomy 25:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ab'oluganda bwe babanga bali wamu, omu ku bo n'afa nga talina mwana, nnamwandu w'omufu tafumbirwanga mulala w'ebweru, wabula muganda wa bba amuwasanga, atuukirize obuvunaanyizibwa bw'okuba mulamu we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu n’afa nga talina mwana wabulenzi, nnamwandu we tafumbirwanga musajja atali wa mu luggya lwa bba. Muganda wa bba anaatwalanga nnamwandu oyo n’amuwasa, n’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwa muganda we omugenzi eri nnamwandu oyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Abasajja ab'oluganda bwe banaabanga ab'obutaka obumu, omu kubo n'afa nga tazadde mwana wa bulenzi, nnamwandu we taafumbirwenga musajja mulala atali wa luganda lwa mufu. Muganda w'omufu oyo anaawasanga nnamwandu n'amukolera ekyo muganda w'omusajja ky'ateekwa okukolera mulamu we. Ab'oluganda bwe banaabeeranga awamu, omu ku bo n'afa, nga talina mutabani, omukazi w'oyo afudde tafumbirwanga walala atali wa luganda: muganda wa bba ayingire gy'ali, amuwase, amukolere ebigwanira muganda wa bba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abasajja abooluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu ku bo n'afa nga tazadde mwana wa bulenzi, nnamwandu we taafumbirwenga musajja mulala atali waaluganda lwa mufu. Muganda w'omufu anaatwalanga nnamwandu oyo amuwase, amukolere ekyo muganda w'omusajja ky'ateekwa okukolera mulamu we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ab'oluganda bwe banaabeeranga awamu, omu ku bo n’afa, nga talina mutabani, omukazi w'oyo afudde tafumbirwanga walala atali wa luganda: muganda wa bba ayingire gy'ali, amuwase, amukolere ebigwanira muganda wa bba