Deuteronomy 25:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulenzi omukazi gw'asookanga okuzaala amuyitanga linnya lya muganda we omufu, erinnya ly'oli lireme kuzikirira mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwana owoobulenzi gw’anaasookanga okuzaala y’anaasikiranga erinnya lya muganda we omugenzi, bwe lityo erinnya ly’omugenzi ne litasangulwawo mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaatuukanga, omubereberye gw'alizaala y'anaasikiranga erinnya lya muganda we eyafa, erinnya lye liremenga okusangulibwa okuva mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwana ow'obulenzi gw'anaasookanga okuzaala, ye anabbulanga erinnya lya muganda we eyafa, lireme kusaanawo mu Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuukanga, omubereberye gw'alizaala y'anaasikiranga erinnya lya muganda we eyafa, erinnya lye liremenga okusangalibwa okuva mu Isiraeri.