Deuteronomy 25:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omusajja bw'abanga tayagala kutwala muka muganda we, omukazi agendanga mu bakadde ku wankaaki w'ekibuga, n'agamba nti: ‘Mulamu wange tayagala linnya lya muganda we lisigale mu Yisirayeli, nange agaanyi okumpasa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw'okuba mulamu wange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omusajja bw’anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga eri abakulembeze abakulu ab’omu kibuga kye, ku wankaaki, n’abagamba nti, “Muganda wa baze agaanye okuwangaaza erinnya lya muganda we mu Isirayiri. Kubanga agaanye okutuukiriza gye ndi obuvunaanyizibwa bw’alina ku muganda we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omusajja oyo bw'abanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga ku mulyango gw'ekibuga eri abakadde, n'abagamba nti, ‘Mulamu wange agaanye okubbula erinnya lya muganda we mu Isiraeri. Tayagala kukola ekyo muganda w'omufu ky'ateekwa okukolera mulamu we.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omusajja oyo bw'anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga ku mulyango gw'ekibuga awatuula abakulembeze, n'abagamba nti: ‘Muganda wa baze agaana okubbula erinnya lya muganda we mu Yisirayeli. Tayagala kunkolera ekyo muganda w'omusajja ky'ateekwa okukolera mulamu we.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja bw'abanga tayagala kuwasa mukazi wa muganda we, mukazi wa muganda we ayambukenga mu mulyango eri abakadde, ayogere nti Muganda wa baze agaana okuyimusiza muganda we erinnya mu Isiraeri, tayagala kunkolera ebigwanira muganda wa baze.